Job 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ebyambalo bye, n'amwa omutwe, n'agwa wansi ku ttaka, n'asinza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yobu n'asituka n'ayuza ekyambalo kye, n'amwa omutwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ekyambalo kye olw'okunakuwala, n'amwa omutwe gwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yobu n'agolokoka n'ayuza omunagiro gwe n'amwa omutwe n'avuunama ku ttaka n'asinza;