Job 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Nava mu lubuto lwa nnyabo nga ndi bwereere, era ndiddayo bwereere. Omukama yawa, Omukama aggyeewo; erinnya ly'Omukama ligulumizibwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba nti, “Nnava mu lubuto lwa mmange, nga ndi mwereere, era ndifa nga ndi mwereere. Mukama ye yampa, era Mukama ye aggyeewo. Erinnya lya Mukama lyebazibwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mu lubuto lwa mmange navaamu ndi mwereere, era ndifa ndi mwereere. Mukama ye yampa ebyo, era Mukama ye aggyeewo. Kale Mukama yeebazibwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama ye yawa, era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.