Job 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi ebikumi bitaano n'omwandu gw'abaweereza munene nnyo; ye yali asinga ekitiibwa mu bantu bonna ab'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yalina endiga kasanvu (7,000), eŋŋamira enkumi ssatu (3,000), emigogo gy'ente bitaano (500), n'endogoyi enkazi bitaano (500), n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja ye yali asinga obugagga mu bantu bonna ab'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, n'emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja oyo ye yali asinga obugagga mu bantu b'ebuvanjuba bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebintu bye byali endiga kasanvu n'eŋŋamira enkumi ssatu n'emigogo gy'ente ebikumi bitaano n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano n'abaddu bangi nnyo nnyini; omusajja oyo n'aba mukulu okusinga abaana bonna ab'ebuvanjuba.