Job 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani be baagendanga balya embaga mu maka gaabwe mu mpalo; baayitanga bannyinaabwe abasatu bajje balye n'okunywa wamu nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo, buli muntu ku lunaku lwe; nga batumya bannyinaabwe abasatu, okujja okulya n'okunywa nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo mu mpalo, ne batumya bannyinaabwe abasatu, ne babayita okulya n'okunywa nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani be ne bagendanga ne bafumba embaga mu nnyumlia ya buli muntu ku lunaku lwe; ne batumanga ne bayitanga bannyinaabwe abasatu okulya n'okunywa nabo.