Job 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ez'embaga bwe zaggwangako, Yobu yatumyangayo batukuzibwe; enkeera mu matulutulu ng'atambira ku lwa buli kinnoomu ekitambiro ekyokye, kubanga yalowoozanga nti: “Sikulwa ng'abaana bange baakoze ekibi, ne bavuma Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza; yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaggwanga, Yobu n'abatumyanga n'abatukuzanga. Yagolokokanga mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ku buli omu, kubanga Yobu yayogeranga nti, “Oboolyawo batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ez'embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n'abatukuza. Yagolokokanga mu makya, n'aweerayo buli omu ku bo ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baliko ebibi bye baakoze, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaayitawo, Yobu n'atumanga n'abatukuzanga n'agolokokanga enkya mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng'omuwendo gwabwe bonna bwe gwali: kubanga Yobu yayogera nti Mpozzi batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe. Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata.