Job 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'ayanukula nti: “Nva kubaalabaala mu nsi, mbadde ngiyitaayitamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Awo Setaani n'addamu Mukama nti, “Nva kuyitaayita mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Awo, Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.