Job 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Wekkaanyizza omuweereza wange Yobu? Teri amufaanana mu nsi, omusajja ataliiko musango, omwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abuuza Setaani nti, “Olowoozezza ku muweereza wange Yobu? Kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, ne yeewala okukola ebibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n’agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: