Job 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kino wakikisa mu mutima gwo, mmanyi nti okirina mu mwoyo gwo:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bino wabikweka mu mutima gwo, era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waliwo bye wakweka nga bya kyama. Ekyo bw'otyo bwe wakyagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Naye waliwo bino bye wakweka nga bya kyama. Mmanyi nga wali obitegeka okuntuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe: