Job 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mba omusobya, zinsanze! Ne bwe sandibadde na musango, sandiyimusizza mutwe gwange, Kubanga nzijudde ensonyi, nebbise mu nnaku zange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mba nga nsingibbwa omusango, zinsanze nze! Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange, kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, sisobola kuyimusa mutwe gwange, Mba nzijudde obuswavu. Nga ntunuulira okubonaabona kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mba omubi nga zinsanze! Bwe nkola ekituufu nkoteka omutwe gwange ne nzijula okuswala, ne nnyenjebuka olw'okubonaabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswazibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba.