Job 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oleeta abajulirwa abaggya bannumirize, n'oyongera okunsunguwalira; n'onsindikira amagye go, limu ku ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza, era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi; amayengo ne gajja okunnumba olutata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onnumba buggya okumbonyaabonya, Weeyongera okunyiigira, Oyongera okuteekateeka okunnumba nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onnumba buggya okumbonyaabonya. Weeyongera okunsunguwalira. Onsindikira amagye mu bibinja n'ebibinja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange.