Job 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okunyigiriza kikuyamba, n'okanyuga eri omulimu gw'emikono gyo, n'oseka busesi ku biteeso by'ababi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kikusanyusa okunnyigiriza, okunyooma omulimu gw’emikono gyo, n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olaba nga kirungi ggwe okukambuwala, N'okunyooma gwe bye watonda, Naye n'osanyukira okuteesa kw'ababi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olaba nga kirungi okukambuwala n'okunyooma ggwe wennyini bye watonda, n'osanyukira amagezi g'ababi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi?