Job 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'ajja n'akussa mu kkomera, n'atuuza olukiiko, ani anaamuwakanya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko, ani ayinza okumuwakanya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda bw'ajja n'akusiba, N'akuleeta okusalirwa omusango, ani ayinza okumuziyiza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda bw'ajja n'asiba abantu mu kkomera, n'abayita okusalirwa omusango, ani ayinza okumuziyiza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'anaayitamu n'asiba abantu, N'abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza?