Job 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka omuntu omutali kantu tasobola kugeziwala ng'omwana gw'endogoyi ey'ettale bwe gutazaalibwa nga muntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi, ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu abasiru balitandika okutegeera, Bwewalizaalibwayo entulege ey'okufugibwa omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'erizaalibwayo entulege enteefu n'abasiru balitandika okutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu ataliiko ky'agasa talina kutegeera, Weewaawo, abantu bazaalibwa ng'omwana w'entulege.