Job 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliba mugumu, kubanga walibaawo essuubi, oliba mu ddembe, olyebaka mirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi; olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe onoobanga n'emirembe olw'okuba n'essuubi. Katonda anaakukuumanga n'owummula nga tolina ky'otya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Onoobanga n'emirembe olw'okuba n'essuubi. Katonda anaakukuumanga n'owummula nga tolina ky'otya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe.