Job 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ogambye nti: ‘Bye njigiriza tekuli bbala, era ndi mutukuvu mu maaso go.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi, era ndi mutukuvu mu maaso go.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ogamba nti, “by'oyogera bye bituufu, Era nti oli mulongoofu mu maaso ga Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ogamba nti: ‘By'okkiriza bye bituufu, era nti Katonda alaba nti toliiko ky'ovunaanibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu, Nange ndi mulungi mu maaso go.