Job 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'akubikkulira ebyama by'amagezi, kubanga amagezi gaba ga ngeri bbiri. Manya nti Katonda akusabye kitono okulabira ku bibi byo kye bigwanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akubikkulira ebyama by’amagezi; kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri. Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akubuulire ebyama by'amagezi, Ebikisiddwa, ebitamanyika kuggwaayo, Kale tegeera nga Katonda akubonereza katono okusinga bw'osaanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akubuulire eby'amagezi ebikisiddwa, ebitamanyika kuggwaayo. Kale manya nti Katonda akubonereza kitono okusinga bw'osaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era singa akwolesezza ebyama eby'amagezi, Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw'amaanyi! Kale tegeera Katonda ng'akutaatira so si ng'obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira.