Job 12:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutu tekulamula bigambo, ng'olulimi bwe lwawula obuwoomi bw'emmere?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bwawuulira tayawulamu bituufu, n'abulimba, Nga bw'alya emmere ayawulamu ewooma n'etawooma?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu by'awulira tayawulamu bituufu na bitali bya mazima, nga bw'alya ku mmere n'ayawula ewooma n'etewooma?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago?