Job 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bakabona abatwala bambuddwa, ab'obuyinza abaagundiira n'abalinnimula ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abatwala nga tebalina kantu, n’asuula abasajja abaanywera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atoowaza ba bakabona, Era amegga ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abamalamu amagezi, abafuzi abaggya mu buyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi.