Job 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsekererwa mu bannange, nze eyakoowoola Katonda n'ampulira, nsekererwa newandibadde nga ndi mutuukirivu, siriiko musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange. Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu, ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikwano gyange ginsekerera, Nze eyasabanga Katonda n'anziramu, Sirina kibi kye nkoze, naye nsekererwa abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsekererwa mikwano gyange, nze eyasabanga Katonda n'anziramu. Nze omuntu akola ekituufu, ataliiko kye nvunaanibwa, kaakano nsekererwa abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa.