Job 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weema z'abanyazi ziri mirembe n'ez'abasoomooza Katonda ziri wagumu, abo abatwalira Katonda mu ngalo zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana, era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaka g'abanyazi gaba bulungi, N'abo abanyiiza Katonda babeera mu mirembe, Amaanyi gaabwe, ye katonda waabwe gwe beesiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaka g'abanyazi gaba bulungi, n'abo abanyiiza Katonda tebalina babatiisa. Amaanyi gaabwe ge beesiga nga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.