Job 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ebyo byonna kiki ekitamanyi ng'omukono gw'Omukama gwe gwakola kino?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitonde ki ekitamanyi, Mukama yaleese bino byonna?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bitonde byonna ebyo, ekitamanyi kiruwa nti ebibeerawo byonna bikolebwa Mukama?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?