Job 13:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ompandiikako ebintu ebikambwe, n'onsibako ebibi by'omu buvubuka bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma, n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ompandiiseko ebigambo ebikaawa, Era onvunaana okwonoona okw'omu buto bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onnumiriza emisango eminene n'ogiwandiika. Onvunaana ensobi ez'omu buvubuka bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange: