Job 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye njagala njogere n'Omuyinza wa buli kantu, neegomba mpoze ne Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna, era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima njagala okwogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Njagala okwanjulira Katonda ensonga yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye njagala njogere na Muyinzawaabyonna. Katonda gwe njagala okulaga nti siriko kye nvunaanibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda.