Job 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'omuntu bw'ali; bwe yeebaka, tazuukuka; okutuusa eggulu lwe liriggwaawo, talitunula, talizuukuka mu tulo twe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’atyo omuntu bw’agalamira, era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo, abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo n'omuntu afa n'agalamira obutayimuka. Ng'eggulu likyali mu bbanga talizuukuka n'akatono. Talizuukusibwa mu tulo twe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bw'atyo n'omuntu afa, n'agalamira obutayimuka. Ng'eggulu likyali mu bbanga talizuukuka n'akatono. Talizuukusibwa mu tulo twe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.