Job 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amazzi bwe gaseeteeza amayinja, ne mukoka nga bw'akuluggusa ettaka, essuubi ly'omuntu bw'olimalawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi; bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi gaggwereza amayinja, Ne mukoka akuluggusa ettaka. Naawe bw'otyo bw'ozikiriza essuubi ly'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi gaggweereza amayinja, ne mukoka akuluggusa ettaka. Naawe bw'otyo bw'ozikiriza essuubi omuntu ly'aba nalyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuntu.