Job 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo gw'ogamba okutunuuliza amaaso go, omuleete, muwoze naye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo? Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda, ofaayo nnyo okuntunuulira? Oba okundeeta mu maaso go onsalire omusango?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe otunuulira omuntu ali bw'atyo? N'oleeta nga nze mu maaso go onsalire omusango?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe?