Job 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku z'omuntu zaakakasibwa dda, n'omuwendo gw'emyezi gy'alimala wagugera dda; wateesa dda w'akoma, talisukkawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku z’omuntu zaagererwa, wagera obungi bw’emyezi gye era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennaku omuntu za wangaala wazisalawo dda, Wamugerekera n'omuwendo gw'emyezi gye, Era wa mupimira n'ekiseera ky'atayinza kusukkako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wasalirawo dda omuntu ennaku z'aliwangaala. Wamugerekera n'emyezi, n'opimira ddala ebbanga ly'atayinza kusussaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako;