Job 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Waakiri n'omuti gulina ku ssuubi, bwe gutemebwa, guddamu ne guloka, obusibukira bwagwo tebuliggwaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka: Bwe gutemebwa, guloka nate, era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabaawo essuubi omuti bwe gutemebwa, Kubanga ku kikonge kyagwo kumerako ettabi eddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe batema omuti, wabaawo essuubi nti ku kikonge kyagwo kunaaloka ettabi, era teriife.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa.