Job 15:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebikubagizo bya Katonda tebikumalira, ebyo ebigambo ebigonvu ebikugambibwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala, ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okubudaabuda kwa Katonda olowooza kutono, tekukumala, Oba ebigambo eby'obuwombeefu bye twogedde naawe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda by'anaakukolera okukugumya by'ogaya nti tebimala? N'ebigambo ebikkakkamu bye tukubuulira ku lulwe by'onyooma?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala, N'ekigambo ekyogera naawe empola?