Job 15:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaloboozi agatiisa ge gavuga mu matu ge; byonna nga biri mulaala abajambula we bamulumbira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge; byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awulira amaloboozi ag'entiisa, Lwabeera mu mirembe, lwalumbibwa abanyazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awulira mu matu ge amaloboozi ag'entiisa. Lw'afunyeeko akalembereza lw'alirumbibwa abanyazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi ery'entiisa liba mu matu ge; Bw'aba ng'alabye omukisa omunyazi alimugwako: