Job 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abungeeta, ky'ali, mmere ya nsega; amanyi ng'olunaku olw'enzikiza lutuuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya, amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abungeeta nga anoonya eky'okulya, nga yeebuuza gy'anaakijja. Amanyi nti olunaku olwa kazigizigi lumutuuseeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abungeeta anoonye k'anaalya nga yeebuuza gy'anaakaggya. Amanyi nti olwa kazigizigi kati lumukeeredde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Atambuliratambulira ekyokulya ng'ayogera nti Kiri ludda wa? Amanyi ng'olunaku olw'ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe.