Job 15:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde yenna mugevvu mu maaso, ng'alebezza n'endira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wadde nga yenna yagejja amaaso ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga yeenyumiriza olwo bugevvu obw'omu maaso ge, N'obunnene obw'ekiwato kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga mugevvu mu maaso n'emabega agezze akabina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe, Era aleese ebifi by'amasavu ku mbiriizi ze;