Job 15:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Taligaggawala, n'ebintu bye tebiribeerera; by'alina tebirisimba mirandira mu ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Taddeyo kugaggawala, n’obugagga bwe tebulirwawo, n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugagga bwe bwa kaseera buseera, Naye yennyini taliwangaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugagga bwe buliyita buyisi, talimala nabwo kiseera kiwanvu. Naye yennyini taliwangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Taagaggawalenga so n'ebintu bye tebiibenga bya lubeerera, So n'ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka.