Job 15:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aleme kwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga taliggyamu kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yeesiga ebitaliimu aba yeerimba, Kubanga era obutalimu yeeriba empeera ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yeesiga ebitalina mugaso aba yeerimba, kubanga alisasulwamu ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba: Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye.