Job 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwonoonefu bwo buyigiriza akamwa ko, n'olondawo olulimi olw'abakupya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga by'oyogera biraga obutali butuukirivu bwo. By'oyogera byonna bya bulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibi byo ye nsibuko y'ebyo by'oyogera. Era okozesa lulimi lwa bukumpanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, Era weeroboza olulimi lw'abagerengetanya.