Job 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali mirembe, n'ajja ansesseggula; yankwata ebikya n'ambetenta. Nze gw'afudde ow'okulondoola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati; yankwata ku nsingo n’ammenyamu. Anfudde ssabbaawa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo n'akuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo, n'ankuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye.