Job 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awolereza abantu eri Katonda, ng'omuntu bw'awolereza mikwano gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Njagala omuntu ampolereze eri Katonda, Okufaanana ng'oyo awolereza muntu munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabeewo ali wakati wa Katonda nange omuntu, okufaanana ng'oyo abeera wakati w'omuntu ne munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne.