Job 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo byo ebikunta ng'empewo tebiggwaayo? Ggwe kiki ekikutinkuula okwogera ebitakutuka?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo byammwe bingi, tebiikome? Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo ebitaliimu munaabikomya ddi? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emboozi eyo etegasa munaagikomya wa? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula?