Job 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange mbadde nsobola okwogera nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde bingi ku mmwe, ne mbanyeenyeza n'omutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, Singa mmwe muli mu mbeera gye ndimu, Nandiboogeredde amafuukuule, Nga bwe mbannyeenyeza omutwe gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, singa mmwe muli mu mbeera eyange gye ndimu bwe nti. Nandiboogeredde amafuukuule nga bwe nnyeenya n'omutwe mu bunyoomi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange.