Job 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ondizze; ampaayiriza afuuse ampaako obujulizi, yeesimbyewo okunnumiriza, ampaayiriza mu maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala, obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onkwatidde ddala, ndinga omulabe wo, N'obukovvu bwange abantu kwe basinziira, okunnumiriza nti gunsinze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe okunvumbagira kye kinnumiriza. N'obukovvu bwange, abantu kwe basinziira okukakasa nti gunsinze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange.