Job 16:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwe bunjuzaamu, bunjigga; annumidde n'obujiji; Omulabe wange antunuuliza amaaso makambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza, annumira emba; omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu busungu bwe antaagudde era anjigganyizza. Era annumidde obujiji, Omulabe wange ankanulidde amaaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda, mu busungu bwe, antaagudde era ankyaye. Annumidde obujiji. Yeefudde omulabe wange, n'ankanulira amaaso!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso.