Job 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talina baana yadde abazzukulu; talina asigaddewo mu nsi mwe yabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be, newaakubadde ekifo mwabeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna alisigala gye yabeeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku babe tewalisigalawo mwana wadde omuzzukulu. Era gye yabeeranga teriwonawo muntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga.