Job 18:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'ebugwanjuba bawuniikiridde okulaba ekimutuuseeko; ab'ebuvanjuba bakwatiddwa ensisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako; n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abanaaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka lwe lwabaatiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebuvanjuba n'ebugwanjuba abaliwulira ebimutuuseeko balyesisiwala ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa.