Job 18:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo bye bigwira ekisulo ky'omubi, n'ekifo ky'oyo atamanyi Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi; bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima enkomerero y'ababi bweba bwetyo ddala, Era n'abo abateesiga Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkomerero y'ababi ye eyo, awatali kuwannaanya. Ekyo kye kirituukirira ku bateefiirayo ku Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo, Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda.