Job 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyama yange n'olususu bikwatidde ku magumba gange, nnyama ya kibuno yokka gye nsigazza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nsigadde magumba meereere, Era mponedde watono obutafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsigaddeko lususu na magumba. Mponedde watono obutafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange, Era mponye n'eddiba ly'okumanayo gange.