Job 19:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki munjigganya nga Katonda? Temukkuta nnyama yange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki munjigganya nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munjigganyiza ki nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala?