Job 19:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ng'olususu luno lumaze okwonooneka, awatali mubiri gwange, ndiraba Katonda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiraba Katonda nga nnina omubiri; wadde ng'endwadde eridde olususu lwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda: