Job 19:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ndimulaba nze nzennyini, n'amaaso gange ndimwerolera, si mulala wabula nze. Omutima gwange nga guyaayaana mu nze munda!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nze mwene ndimulaba, n’amaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gwe ndiraba nze nzennyini, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Omutima gwange gweralikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimulaba nze nzennyini n'amaaso gange nga ye oyo, sso si mulala. Omutima gwange gweraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.