Job 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne bwe ndeekaana nti: ‘Nnyigiriziddwa,’ siddibwamu; ne bwe mpanjaga, tewali annejjeereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye tewali ampulira, Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Laba, bwe ndeekaana nti: ‘Banzita!’ tewaba ampulira. Bwe nkuba enduulu bannyambe, tewali antaasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.