Job 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olulala abaana ba Katonda bwe bajja okweyanjula ew'Omukama, ne Sitaani n'abajjiramu naye yeeyanjule gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaku lwali lumu nate, abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olunaku lwali lumu nate, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani n'ajjira mu bo okweyanjula mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nate olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.